Site icon Uganda Today

Ebyafaayo: Amin Yazza Enjole Ya Sir Edward Muteesa

Ebyafaayo bya Buganda
Amin ne Buganda
.

Newankubadde nga Amin yeyali omuddumizi wa eggye lya Uganda eryalumba Ssekabaka Sir Edward Walugembe Luwangula Muteesa ow’okubiri mu Lubiri lwe e Mengo, mu 1966, omuntu y’omu yakola kinene nnyo okugezaako okuzzawo obwakabaka obwaali busanyizziddwawo Kawenkene Obote.

Robert Nviiri akuttottolera byeyakola mubuufu obwokutebenkeza emitima gy’abaganda egyaali gyenyisse olwokufa kwa Ssekabaka n’abaganda abalala bangi.

26/01/71
Amin yategeeza ensi nga enjole ya Sir Edward Muteesa II bwe yali egenda okukomezebwawo era n’ekifaananyi kye kitimbibwe mu kisenge kya National Assembly (Parliament) kubanga ye president wa Uganda eyasooka. Era yagamba nti Sir Edward yali wakuziikibwa mu bitiibwa byonna eby’amagye nga eyaliko omuduumizi w’amagye ate ali ku ddaala lya Major General era Kabaka wa Buganda. Abaganda baawa Amin erinnya erya Mirembe olw’ekikolwa ekyo.!

Abataka ba Buganda nga bagenda ku mikolo gya Buganda

28/01/71
Amin yayimbula abasibe 54 bonna abaali baasibwa olw’ebyobufuzi. Mu abo mwe mwali Nnaalinnya Sarah Ndagire, Nnaalinnya Mpologoma, Omulangira Mawanda, Omulangira Badru Kakungulu, Omulangira Kayemba, Omulangira Jjuuko, Omulangira Ndawula, Oweek. Amos Sempa, Ben Kiwanuka, Paul Ssemwogerere, Jolly Joe Kiwanuka, ne A. Ssenkoma.

05/02/71
Amin yalonda abasajja enkwatangabo 18 okuva mu bitundu byonna ebya Uganda n’akola gavumenti era n’erayizibwa Ssaabalamuzi Sir D.J. Sheridan ku kisaawe e Kololo.

Mayor Francis Walugembe


Amin mu kwogera kwe e Kololo yalangirira nga bwe yali aggyewo ebitongole byobufuzi nga n’ekya Mayor nga mw’okitwalidde. Kyokka yasaba abantu obutawoolera ggwanga ku muntu yenna. Bo bannamasaka olwawulira ebyo ne beeyiwa mu bbaala ya Francis Walugembe mu Nyendo eyali eyitibwa Mirinda Bar ne banywa buli kimu kye baasobola okukwatako engalo nga bwe baleekaanira waggulu nti Walugembe oli munnanfuusi. Baava awo ne balumba amaka ge kyokka yali abatebuse ng’adduse. Mu busungu obungi kwe kukuba enju ye amayinja n’okugikoonakoona era baali bagenda okugyokya awo police we yatuukira n’etaasa embeera.

Amini eyali Pulesidenti wa Uganda oluvanyuma ly’okukunkumula eyali mukamaawe Milton Obote omukono mukibya, nga ali ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi eyali Omulangira mukiseera ekyo.

12/02/71
Amin yakkiriza eyaliko Minister wa Obote, William Kalema, okudda ku butaka era mukyala we Rhoda Kalema ye yamwaniriza ku kisaawe e Ntebe. Amin yatuma Abu Mayanja amukiikirire ku mukolo ogwo.

Kafyu n’ebiseera ebyakabenje

Akakiiko k’amagye kaasaba Amin afuge Uganda emyaka etaano nga president awatali kulonda nga bw’atereeza eggwanga era ne kalangirira nga ebiseera ebyakabenje bwe byali biggyiddwawo kyokka bwo Obwakabaka bwaali bwakulinda okuzzibwawo.

07/03/71
Amin yayimbula abasibe abalala 1,509 abaali baasibwa ku misango emijweteke era n’alangirira olunaku lwa 07/03/71 nga olw’okwekulisa ekkomera n’okufuula Uganda the 2nd Republic of Uganda. Mu basibe abaayimbulwa mwe mwali Oweek Kamaanyi

14/03/71
Ku mawuledi e Masaka, Amin yasaba bannayuganda bakuume eddembe gavumenti y’amagye lye yali ebaleetedde era abaamaduuka n’abalagira okuwanikanga ebbeeyi y’ebintu bye batunda kisobozese obutaseera omuntu owabulijjo

31/03/71
Enjole ya Ssekabaka Muteesa II yakomezebwawo ku butaka nga ewerekerwako abantu 129. Baagireetera mu nnyonyi Super VC10 eya British Caledonian

20/04/71
Oluvannyuma lwa Obote okuyima e Tanzania n’akolokota Amin olw’okukomyawo enjole ya Sir Edward, gavumenti ya Amin yakola akaddanyuma ku bweyamo bwayo bwe yali ekoze okulekawo ebijjukizo Obote bye yali akoze. Mu bijjukizo ebyo mwe mwali ebifaananyi mu wofeesi za govt, ekibumbe ky’omutwe gwa Obote ku kiyitirirwa ekiyingira mu Parliament, oluguudo Obote Avenue mu Lira ne Kampala, oluguudo Apollo Avenue mu Kampala, essomero Dr. Obote college e Lango, Apollo hotel, Milton Obote Foundation.
Waaliwo omuntu owakajanja eyali ayagala okulaga nga bw’awagira ennyo Obote era nga n’embwa ye yagituuma Obote, ku olwo oluvannyuma lw’ekirangiriro embwa eyo yalwala era enkeera nga 21/04/71 bwe baamala okuwanulayo ettwe ly’Obote ku Parliament, embwa Obote nayo n’etondoka! Musajjamukulu oyo erinnya ye yali Simon Mwebe.

21/04/71
Gavumenti yafulumya yategeeza ensi nga bwe yali egudde mu lukwe lwa Obote okuyima e Tanzania alumbe Uganda era atte abantu naddala Abaganda olw’okuwagira Amin. Era mu biwandiiko bambega ba gavumenti bye baali baguddeko Obote yali ategese okutta mukazi we Miria n’abaana omusango bagusibe ku Amin. Ebiwandiiko bino byakwatibwa n’omukozi wa EARC ayitibwa Labeja eyali yakava e Tanzania wamu n’abatanzania basatu. Waaliwo n’omwana w’essomero omutanzaniya, amannya G. Katabaro, eyakwatibwa mu lukwe lwe lumu nga yali agenze e Mutukula okuketta ku busobozi bw’amagye ga Uganda.

May 1971
Amin bwe yali alambula e Kigezi yategeeza ensi nga bwe yali agenda okusooka okukola Entegeka y’Obufuzi (Constitution) empya nga amagye tegannaba kutegeka kulonda

Abaganda bwe baalaba nga Obote yeefunyiridde okutabangula ensi, kwe kusalawo okukubaganya ebirowoozo ku magezi ki agayinza okusalibwa okuwata Obote. Omuntu omu kwe kuteesa gavumenti eteekewo ekirabo kya kakadde kamu (1m/-) nga ekirabo eri oyo alikwata Obote nga mulamu oba mufu. Gavumenti ekiteeso yakigula era n’egamba nti Obote yali yeetagibwa akomewo abitebye eby’okufa kwa Brig. Perinayo Okoyo ne mukazi we Anna Okoyo abaatemulwa e Gulu aba GSU. Era govt yayongera n’eteekawo ebirabo bibiri buli kimu kya 500,000/- eri oyo alikwata Akena Adoko ne Lt. Col. Oyite Ojok abaali baddukira e Tanzania oluvannyuma lwa Amin okuwamba Obote. Ababiri abo baali balina kye bamanyi ku kufa kwa Brig. Okoya ne mukazi we Anna.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi Ow’okubiri nga akongojjebwa Ab’embogo kummattikiraage mu 1993 e Nagalabi Buddo

Amin yatuuza olukiiko lwa banaddiini e Kabale okulaba engeri eddiini gye ziyinza okwegattamu kubanga Obote yali ayise mu kituli kya ddiini okwawulayawula mu bannayuganda.

June 1971
Amin yennyamira okulaba nga akakiiko akaali kakola ku nsonga z’Ekkanisa tekaasobola kukkiriziganya ku ebyo ebyali bireeseewo okukuubagana wakati wa Buganda ne Province of CoU, Rwanda, Burundi and Boga Zaire.

Minisita w’ebyensimbi, Emmanuel Wakhweya, yafulumya embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 1971/72 gavumenti mwe yaggyirawo emisolo munaana egyali ginyigiriza omuntu wa bulijjo

Mwannyina wa Amin, Akisu, yafiira awaka we e Bugerere. Amawulire gano Amin gaamusanga Teso ku mirimu emitongole. Akisu yaziikibwa mu Arua nga 22/06/71

27/06/71
Ben Kiwanuka yalayizibwa ku kifo ky’Omulamuzi omukulu oluvannyuma lwa Amin okumuggonomolako obukulu obwo nga omulamuzi munnayuganda asoose okudda mu kifo kya Justice D.J. Sheridan eyali awummudde. Ben yakola akabaga ak’okwebaza n’okwekulisa nga 28/06/71 mu maka ge e Lubaga era Amin teyalutumira mwana.

22/07/71
Amin yalangirira nga Kampala bwe yali eyawuddwa ku Buganda region okukola Kampala region era nga ekitongole kyayo kyakubeera Nsambya ate yo Buganda region ekitebe kyayo kibeere Ntebe

Gavumenti yawa Eng. Joseph Kimbowa owa Kimbowa Builders and Contractors omulimu gwa 3.9m/- ogw’okubunya amazzi mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamo e Nakivale mu Ankole.

05/08/71
Amin yasisinkana Abataka Abaganda abakulu nga Ssaabataka Ronald Mutebi ye musaale, mu Kampala International Conference Centre eyali yakaggulwawo nga 03/06/71. Mu Bantu abalala abaayitibwa mwalimu abo abaali ababaka b’olukiiko lwa Buganda, bannaddiini, abasuubuzi, bannamateeka, ababaka ba National Assembly. Bonna awamu baali 1,500. Ensonga enkulu ez’okuteesaako zali okutumbula ebyobulimi, ebyenfuna, n’ebyokwerinda. Amin yagamba nti etteeka lya 1928 ery’obusuulu lyali kisaana okulongoosebwamu okusobozesa omusenze ne nannyini ttaka okubeera obulungi. Yakikkaatiriza nti gavumenti ye yali tegenda kuggyako bantu ttaka lyabwe. Amin bwe yamala okwogera, eyaliko Katikkiro Oweek. Paulo Niel Kavuma kwe kusaba nabo babeeko kyeboogerako, era Amin n’akkiriza.

Oweek. Kavuma yasaba Amin akkirize Obwakabaka buddewo mu Buganda ne mu bitundu ebirala gye bwaali singa abantu baayo bakyagala.

Omutaka omulala yasaba Amin akkirize Omulangira Ronald Mutebi ayitibwe Ssaabataka n’enju eyali ey’Obote e Kololo eweebwe Omulangira Ronald Mutebi oluvannyuma lwa Bbote okwonoona Olubiri lw’e Mmengo.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi nga asisinkanye pulesidenti Tibuhaburwa mu maka g’obwa pulesidenti e Nakasero

Omutaka omulala yasaba Bulange eddizibwe Buganda

Musajjamukulu Walakira yasaba ebbeeyi y’emmwanyi erinnyisibwe etuuke ku 1/- ate eya ppamba etuuke ku 2/- buli kkiro.

Ku nsonga ez’obwakabaka Amin yaddamu nti KY ne UPC be baaleeta omuteeru bwe beesitula mu 1961 ne bagenda e Baamunaanika ne balimba Sir Edward okukkiriza okuwa UPC ababaka ba Buganda 21 Obote asobole okuwangula DP. Wano Amin kwe kukyukira Ignatius Musaazi n’amuwemuukira nga amugamba nti “Olwokukyukakyuka kammwe Abaganda, ggwe watandika UNC kyokka n’okivaamu n’okirekera Obote eyakifuula UPC era olwo n’avuluga ebintu!”

(Amawulire ga Munno owa 03/08/71 gaali gafulumizza eggulire erigamba nga Ssaabalangira Paulo Lukongwa bwe yali akakasizza nti Omulangira Ronald Mutebi ye Ssaabataka) Amin ku ky’okuzzaawo Obwakabaka yagamba kigire nga kirinda kubanga kyali nsonga ya byabufuzi ate nga amagye gaali gayimirizza ebyobufuzi okutuusa nga gamaze okukola ku nsonga 18 ze gaawa okuggyako gavumenti ya Obote. Omukiise omu yali asabye Amin akkirize ababaka b’olukiiko lwa Buganda balondebwe butereevu abantu. Ekyo Amin yakikkiriza.

NUSU ku Bwakabaka.


Abavubuka b’ekibiina Obote kye yatandikawo ekya NUSU olwawulira okusaba kw’Abataka okw’okuzzaawo Obwakabaka, ne bawandiikira Omulangira Ronald Mutebi ave ku by’okulowooza ku kuzzaawo Obwakabaka! Mbu eyo yali nkola nkadde ezza ensi yaffe emabega! Tebaakoma awo, baagamba Omulangira mbu abo abaamuli ku lusegere baali banoonya buwagizi mu byabufuzi!

Abayeekera ba Obote nabo baagulirira abanene mu gavumenti ne mu Bantu basobole okuwakanya eky’okuzzaawo Obwakabaka nga bayita mu kuwandiika mu mpapula z’amawulire, enjawukana mu Balangira, pokopoko mu bintundu ebiri wabweru wa Buganda okusobola okunafuya Amin ku ky’okuzzaawo Obwakabaka.

September 1971
Seminary y’e Bukalasa yajaguza emyaka 75 era Amin yayitibwa nga omugenyi owoolunaku. Mu kwogera kwe, Amin yagamba nga bwe yali akwasizza Ben Kiwanuka abaana be bana basobole okusoma obusaserodooti. Ben ensonga yagikwasa abakulu b’Eklezia engeri abaana ba Amin ne Amin gye baali Abasiraamu

Eyali akulira Commercial Court, Michael Kaggwa yatemulwa era omulambo gwe ne gussibwa mu mmotoka ye Ford Anglia ne bagivuga okutuuka e Namirembe nga ku Sanyu Babies Home, ne bagikumako omuliro! Kiteeberezebwa nti abaakikola baali bayeekera b’Obote. Yaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe e Mannyangwa.

Ssaabataka yakomekkereza okukyala kwe okwokubiri mu Summer holidays. Yagendako e Lubaga okubeebaza bye baakolera kitaawe mu 1966 nga Obuganda bulumbiddwa Obote.

October 1971
Ku lunaku lwa 09/10/71 ku kukuza ameefuga e Kololo, Amin yategeeza ensi nga Obwakabaka bwe bwali tebukyaddawo! Era ku olwo Amin lwe yayingizibwa nga Chancellor wa Makerere University okusinziira ku tteeka lya 1970 Makerere bwe yali efuulibwa University

Amin yakola ekijjukizo kya Bassekabaka Daniel Mwanga II ne John Ccwamali Kabarega wamu ne Chief Daudi Odora ku mutala Kungu mu Kyoga district, Lango.

17/10/71
Amin yayima e Mbale n’agamba nti gavumenti bw’eriba etuusizza okukwasa obuyinza bannabyabufuzi, egenda kusooka kuggyawo ebibiina by’obufuzi byonna ebyaliwo nga 1971 tegunnatuuka kubanga bye byali akagiiko nnattabula nga bisinziira mu njawukana mu ddiini okwawulayawula mu bannayuganda.

Nga 29/10/71 Amin yatandika okulambula ebitundu bya Buganda nga atandikira e Mubende

November 1971
Amin yalambula Buganda yonna. Amin bwe yava e Mubende yalaga Busujju. Bwe yali tannakyaluka e Busujju, eyo gye yabotolera ekyama eky’okulabula omulangira Ronald Muwenda Mutebi ku nsonga z’ebyobufuzi ng’ayita mu muto wa Kitaawe Omulangira David Ssimbwa.

December 1971
Amin yatuuza Abalabirizi ba Buganda ku bya lipoota ya John Bikangaga oluvannyuma lwa West Buganda ne Namirembe okutiisatiisa okutandikawo Obusaabalabirizi obwa Buganda. Kyaali kirowoozebwa nti alipoota eyo yakolebwa mu mwoyo gwa byabufuzi so si ddiini. Amin bwe yamala okwogerako ne baminisita be kwe kuweereza House of Bishops ebirowoozo bino:

  • okutondawo Obulabirizi bwa Kampala
  • Namirembe Cathedral tekyabalibwa nga Kkanisa ya Buganda wabula Uganda yonna
  • Ekkanisa mu Uganda ekomye okujuliranga e Canterbury
  • ettaka okuli Lutikko Namirembe lya Bakristaayo ba Uganda bonna
  • gavumenti eteekewo Akakiiko akabuuliriza ku ttaka lya Namirembe ne ery’Ekkanisa ya Uganda lyonna

Abalabirizi nabo baatuula mu nsonga ne basalawo bwe bati:

  • okutondawo Obulabirizi bwa Kampala nga bufugibwa Ssaabalabirizi
  • Ekkanisa ya Lutikko Namirembe esigala ya Buganda era efugibwa Omulabirizi we Namirembe, wabula eteekebwemu Namulondo bbiri, eya Ssaabalabirizi ne ey’Omulabirizi wa Namirembe Diocese
  • okuteekawo Akakiiko akabuuliriza ku ttaka ly’Ekkanisa n’ebintu byayo
  • Ssaabalabirizi yagaana okutwala obuyinza bw’Ekkanisa yonna wabula ayisibwe nga owooluganda mu Balabirizi banne so si kubafuga

Abaganda bwe baawulira ebyateesebwa ku ttaka ly’Ekkanisa ne bazikubamu ne zaaka! Baagamba nti nno mu Ndagaano ya 1900 Buganda Agreement, abaminsani baafuna Mailo 104. Kati engeri Ekkanisa gye yafuuka eya Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga Zaire ab’eyo ettaka eryo baali balirinako mugabo ki?? Ye abaffe, waliwo n’Abaganda ab’ebitundu ebitali bimu mu Buganda abaawaayo ettaka lyabwe eri Ekkanisa nga n’abamu ku bo ettaka lino lyali lyabwe lya bwanannyini ate abalala nga baagula ggule olw’omwoyo gw’Ekkanisa amasinzizo gasobole okuzimbibwa. Kati ettaka eryo nalyo ab’ebitundu ebirala ebitali mu Buganda batandike okuliwaako amateeka?? Omulabirizi Dunstan Nsubuga yasaba Abaganda bagumiikirize Akakiiko ka Salidana (Justice Sheldan) kamale okutunula mu nsonga ezo.

Abaganda abaali basomera mu Australia baategeka okusabira omwoyo gwa Sir Edward nga bajjukira emyaka ebiri bukya aggya mukono mu Ngabo

Emisango 17 govt ya UPC gye yali etadde ku Ben Kiwanuka, Paul Ssemwogerere n’aba DP abalala mu 1969 gyaggalwawo

Obote yayima e Tanzania n’asaba Abaganda bamwegatteko mu kulwanyisa gavumenti ya Amin. Ebyo byafulumira mu lupapula lw’amawulire Taifa Empya olwa 28/12/71

Alipoota ku by’okubba sente ezatundibwa mu masanga ne zaabu bya Congo yafuluma nga eteereddwako omukono gwa Lt. Col. Obitre Gama. Yakubibwa mu kitabo kya obungi bw’empapula 874 era nga kigula 54/- eri buli agyetaaga.

Bikunganyiziddwa Robert Nviiri
August 2021

Exit mobile version