Site icon Uganda Today

Bino Byampuna: Omwana Ssi Wamugenzi!

Omukyala oyo ye Nyina w'omwana gweyali agabye ewa Mwami Ssekaayi nga muzzukuluwe.

Bino Byampuna Omwana Ssi Wamugenzi

Mwami Ssekaayi omutuuze we Bweyogerere Ntebetebe yawemukidde omukyala eyali yamutukirira namuwa omwana eyali omuto ennyo mukiseera ekyo nga amummattiza nga omwana oyo bweyali omwana wa mutabaniwe eyafiira mu mu kabenje ka motoka.

Omukyala ono kaggw’ensonyi, yali amaze okukimanya nti mutabani wa mwami Ssekaayi (Godfrey Muyimbwa Ssekaayi) yali afudde talina mwana. Wano weyansinziira naleeta omwana omulenzi ewa mwami Ssekaayi era omwana bweyavumbavumbamu, mwami Ssekaayi yategeka okwabiza mutabaniwe olumbe nga empisa yab’aganda bweeri. Olumbe lwayaba era omwana ono kati atemera mu gyobukulu nga 8 nasikira Godfrey Ssekaayi. yasumikibwa era naaweebwa n’ekifundikwa. (Ekifundikwa lwelubugo olusibibwaako ekifundikwa okusobola okwambazibwa omusika w’omugenzi nga luyita mu bulago ne mu nkwaawa.) Omusika  omusajja, akwasibwa effumu era naakuuttirwa okulwanirira Obuganda ne Kabakawe. Bino byonna byakolebwa ewa mwami Ssekaayi.

Naye nga Abaganda bwebagamba nti Ssekono tawanyisibwa, nti era buli mbuzi erina okudda ku nkoondo yaayo, wafubutukayo omusajja natandika okubanja mwami Ssekaayi omwanawe nga alumiriza nga omwana oyo bwaali owuwe ow’omuntumbweze era ow’endaaye atali wa mugenzi Godfrey Muyimbwa Ssekaayi.

Mwami Ssekaayi byamukalira ku matama nayita mukamwana abimubuuze, omukyala ono gwoyinza okuyita Nnalukalala era omukalukalu atajja Busera, yayimirira bwantoogo- obwemmuli bufa enyingo, naalayira nga omwana bweyali ow’omugenzi.

Omusajja nanyinni mwana yalemerako, nga enjogera yennaku zino bweeri naagenda ku puliisi gyeyawaaba omusango nga asaba aweebwe omwanawe. Puliisi yasalawo omwana n’omusajja, amukayanira bakeberwe omusaayi gwa DNA basobole okusalawo eggoye. Nyina w’omwana yakalambira nga, ye bweyali talina bwesigwa ku DNA ekkoleddwa wano mu Uganda. Yabuuzibwa Ensi ye gyeyali yesiga, yasaba U.S.A . DNA samples zaggibwa ku mwana n’omusajja eyali amukayanira nezitwalibwa mu U.S.A mu Desemba 2022, era zageenda okudda nga omwana ssi wa mugenzi wabula nga wa musajja omulamu eyali amukayanira.

Kino nno kyekyawalirizza mwami Ssekaayi okuyita abamawulire n’okukwaata akatambi nga ajjako omwana ekifundikwa era nga alagira nyina amutwaale mu kikaakye ekituufu. Mwami Ssekaayi abadde yewaayo okulabirira obulungi akalenzi kano nga amanyi bulungi nti kazzukuluke keyasigaza okulabirako mutabaniwe. Omwana obadde asomera ku Kabojja Preparatory School. Lino lyerimu ku Masomero mu Kampala agawaggulu ennyo mu byenjigiriza n’ebisale ebisasulwa.  Kiri mu mateeka ga Nsi era kimmenya mateeka omukyala okugaba omwana mu kika ekitali kikye.

AUD-20230209-WA0082

 

Exit mobile version