Site icon Uganda Today

Biki Abalabbayi Byebakozesa Okukyuusa Embeera N’obuwangwa Byabalala

 

Emitendera abalabbayi gye bayitamu okuwamba eggwanga

Kyazuulibwa bakakensa mu kunoonyereza ku by’obufuzi nti mu nsi yonna era ne mu buli mbeera, waliwo emitendera ena (04) abalabbayi gye beeyambisa okuwamba oba okuvuluga eggwanga, nga gye gino:

*1. Demoralisation* – _Okunafuya endowooza yo_ – okuggusa ekiruubirirwa kino kitwala wakati w’emyaka 15-20 nga abalabbayi basekeeterera eggwanga lyo. Mu kino abalabbayi batendeka abantu bo abalabika nga balimu empeke oba omulamwa, okukugyemera n’okukukyayisa ennono yo ogirekewo oyagale ekipya ekyabwe kye baagala (abalabbayi). Wano mu Buganda tulaba nga Abawalabu n’Abazungu batukyayisa ebyaffe twagale ebyabwe. Mu ddiini ze baatuleetera, nate era kati tulaba nga batukyayisa ebyasooka batwagaze ebipya bye baginzeginze nga okwogera mu nnimi n’okubuukabuuka (mu Kikristo), ensozi zaffe zonna baziguze ate ne batugobayo, n’ebirala.

*2. Crisis* – _Akatuubagiro_ – mu mutendera guno oluvannyuma lw’okutendeka abajeemu, abalabbayi batondawo akatuubagiro okusobola okulaga nti eggwanga likulemye okukulembera era wano bafuna omu ku bajeemu ne yeesowolayo nga “Omulokozi” era akola ebisuubizo ebikira eggulu n’ensi ebiwugula bannansi ababa baggwaamu edda essuubi. Abajeemu abo abeeyambisibwa be bayitibwa _Useful idiots_

*3. Normalisation* – _Okuweweeza kw’embeera_ – wano bamwoyo gwa ggwanga beesowolayo nga bagamba nti ekimala kimala era bakwata obuyinza ne babuzza mu mikono gyabwe. Kino kitwala ebbanga wakati w’emyaka 15-30 okutereeza ebyasoba. Okugeza, singa tuba bakutandika okutereeza ebisobye mu Buganda leero mu 2022, tuba tujja kumaliriza okwozaamu empulunguse ekitono ennyo mu 2037 ate ekinene ennyo mu 2052. Awo nno nkusaba ggwe asoma bino otegeere akabi eggwanga lyaffe lye kalimu. Gye tukoma okulwa n’okwemoola era ly’ebbanga lye tulimala okutereeza ebisobye.

*4. Destabilization* – _Okutabangula oba okuyeekera eggwanga_ – eno embeera ebalukawo oluvannyuma lw’emyaka 1 – 2 nga bamwoyogwaggwanga bamaze okuwamba obuyinza era nga abo abaakunkumulwa omukono mu kibya bakizudde nti baalimbibwalimbibwa abalabbayi. Abamu ku bajeemu abo batandika okuyeekera obukulembeze obupya (nga bwe twalaba ku Idi Amin mu 1972) obugezaako okutereeza ebyasoba, abandi bagezaako okwegatta ku kibiina ky’ebyobufuzi ekitaliimu bannalukalala, ate abo abatali bannamukisa ne batemulwa mu ngeri ey’amancoolo abalabbayi abaabatendeka okusobola okuggyawo obujulizi kubanga baba bamanyi ebyama bingi (kino kibeere kyakuyiga eri bakalinkwe!)

 

Exit mobile version