Site icon Uganda Today

Bano Bakazi  Abatongole Omusajja Omuganda Beyandiwasizza  Mu Nnono Ya  Baganda.

Omukyala Omuganda nga annekedde mu Gomesi

Uganda Leero: Bano Bakazi  Abatongole Omusajja Omuganda Beyandiwasizza  Mu Nnono Ya  Baganda.

Abaganda okufanaanako n’abayisiraamu balina okukiriza nti omusajja asaanidde okuwasa omukazi assukka mu omu.

Bya Ssaalongo Saava Kyobe Muhamadi

1-KADDULUBAALE ; Ono ye mukyala omukulu mu maka, era yakulira banne bonna n’okubaloopa ewa bbaabwe singa babaako byebakola  ebibi nga obwenzi nebirala era ye muwabuzi waabwe omukulu.
2-KABEJJA ; Ono yemukazi asinga obuganzi n’okwagalwa nnyinimu, oluusi kaba kakyali na kato mu myaka nga n’ebbeere ttutu nnyo.
  3-NASSAZA ; Ono ye mukyala avunaanyizibwa ku nsonga z’ekiyungu zonna n’okugaba enva. Ateekwa okulaba ng’omwami alya n’okunywa obulungi naddala ebyo ebimuwa amaanyi ag’ensonga.
4-MUWANIKA; Ono ye muteresi era omukuumi w’ebyobugagga bya bbaabwe mu maka omuli n’ensimbi ,beppo n’ebyapa bya nnyinimu.
5-MUKUUMA; Ono y’awerekera ku mwami ku mikolo ne mu birabo okunywamu, singa nnyinimu abeera ayagadde okunywerako ebweru ng’ali ne basajja banne. Ateekwa okukakasa nti omwami alabika bulungi mu nnyambala , naddala ku mikolo gyebalaze.
6-MUBIKKA; Ono ye mukazi avunaanyizibwa ku kisenge kya nnyinimu n’ekitanda “Ggandalyasajja” nnyinimu  mwasula yekka okulowooleza amaka ge n’okugatetenkanyiza.Ateekwa okulaba nga kiyonjo nnyo, temuli biwuka biyinza kumutuusaako bulabe , n’okumubikka embugo ennungi ennamu ezimubugumya.
omuwala ateekatekeddwa n’okumufumbirira nga agenda mu bufumbo
BINO BIKULU.
 Kya magezi nnyo okuwasa abakazi b’osobola mu ndabirira ne mu busobozi bwo ng’omusajja.
Abakazi bano bonna, babeera babo mu mateeka singa bakwanjula mu bazadde baabwe era n’owaayo omutwalo ng’olina n’obukakafu nti babakukwasa.
    Mu mateeka g’ensi, singa  ggwe bbaabwe ofa, bagabana 20% ku byobugagga byo, era nabo bwe bafa,ku byobugagga bye balese ogabanako 20%  ku buli afudde.
        Nazzikuno ng’abakyala bano baasuzibwanga mu nju emu, kyokka ensangi zino kizibu nnyo okubagattika, bayinza okwetta, naawe nnyini bo n’olugenderamu, kyandibadde kya magezi buli omu n’omuzimbira amaka agage.
     Tekyandibadde kya magezi kuwasa bakazi bakazi ba luganda, oba abakazi okufumbirwaa abasajja ab’oluganda kubanga osobola okusombola endwadde ez’olukonvuba,n’emize egyenjawulo egitabmulira mu Lulyo olwo.

Exit mobile version