Hajji Yasin Bakaluba Ssekimwanyi nanyinni Kampuni era addukanya Bakaluba Property Services attaddewo essuula empya mubyokuzimba, bwazimbye ebizimbe ebyenjawulo ebiri kumulembe nga abizimbye ebweeru wa Kampala.
Wetwogerera Bakaluba Property Services bakyuusizza obwengula bwa Mbalwa – Namugongo bwebazimbye ekizimbe bwaguuga awo ku Ndiwulira road- Northern bypass link, ku luguudo oluva ku Namugongo- Kireka road okumpi ne Agenda 2000 nga odda ku Uganda National Bureau of Standards (UNBS).
Ekizimbe kino ekigibwaako engala saawa yonna, kyamyaliiro essattu, kuliko ebisulo ebyekisenge ekimu (1 bed apartments), amaduuka (shops) ebipangisibwa ne parking ya motoka. Hajji Bakaluba agamba nti bwagenze akola omulimu gwe guno ogwokuzimba amayumba aga buli ngeri, agasuulwamu n’agebyobusuubuzi ( residences and commercial buildings) nga agazimbira ebitongole n’abantu ssekinoomu, naddala abo abali ebweeru wa Uganda, yafuna ekinyegenyege naye okuzimba ekizimbe ekigya mu bumanyirivu bwalina mu mulimu guno ogwokuddunya, okuzimba amayumba n’okugalabirira (real estate management).
Hajji Bakaluba agattako nti nga ayita mukwetaba munkungaana za real estate management, wano n’ebweeru we Ggwanga, yafuna okwolesebwa n’obumanyirivu mukuddukanya emirimu gye, mungeri eyekikugu. Ono ayongerako nti banna Uganda baangi bamwettannidde olw’emperezaye eyekikugu.
Hajji, agamba nti nga ayita munkolagana ennungi nabamuguza ebyokuzimbisa ebiri kumulembe nga ba Viena Hardware, Brax Paints ne ba Kimshan, asobola bulungi okuzimba ekizimbe kyonna ekiri ku plan era nga kikwatagana bulungi n’enkulakulana (development plan) y’ekitundu kyonna mu Ggwanga n’ebweeru wa Uganda.
Ebitongole ebyanjawulo n’abantu abaddukanya business ezenjawulo, nga Dezdro Kids Collection, Pharmacies, St. James Medical Laboratory n’abalala, baatandise dda okupangisa ebifo ku kizimbe kino
Bakaluba Mall Mbalwa- Namugongo, erindiridde bapangisa balala kutandika kukwazza mirimu gyaabwe nga bwebaba bagala. Bakaluba Property Services batuukirire ku Phone/ WhatsApp No. +256 777 666 443