Omuyimbi munna Uganda Aziza Banana awunikiriza ensi bwagenze e Karamoja nageezaako okuwa omukyala omukaramoja gwasanze ku n’abaanabe ensiimbi naye ate omukyala nazigaana.
Omukyala ono, eyabadde aweese omwana omuto ku mugongo nga ali n’akalenzi akato ekemyaaka nga 6 nga kettisse omugugu, agamba nti babadde bava mu Ddwaliro e Matany.
Bafana yagezezaako okuttonera omukyala ono ensiimbi obuppapula obw’omutwaalo ogumu busatu nga agenderera nti buli omu afune omutwaalo gumugumu naye gyebyakidde nga omukyala ensiimbi azimuziliridde.
Mukatambi nga Bafana awayaamu n’omukyala ono eyawulikise nti muyivvu olwokuba olungereza yabadde alukuba buddinda, yagaanyi ensiimbi nga agamba nti ono okumuwa ensiimbi ezo zonna, yabadde nekigendererwa ekyokumuloga.!
Omukyala awulikika nga amubuuza oba ensiimbi zino zeyabadde amuwa, oba ziva wa Katonda.!
Abakaramoja Bafa Enjala.
Kinajjukirwa nti enjala “ggwe omuwadde akatebe” ejjonyesa abakaramoja ensangi zino, era nga gavunenti, eamakkanisa, n’ebitongole binakyeewa bali kumulimu gwokubudabuda abakaramoja nga babaddukirira ne mmere n’ebintu ebirala ebikizedebwa mu bulamu obwabulijjo.
Naye Ddala Ddala Abazadde Abakaramoja Bebasindika Abaana Baabwe Ku Nguudo Okusabiriza?
Okusinziira kukatambi kano, kaleetawo ebibuuzo biingi nnyo kunsonga yabakaramoja abaana abasangibwa ku nguudo zomu Kampala n’ebibuga ebirala mu Ggwanga nga basabiriza, nga kigambibwa nti abazadde baabwe bebabasindika okujja ku nguudo okusabiriza.
Singa ddala abazadde bebasindika abaana bano, omukyala nga ono, yandibadde akimanyi bulungi nti mu Uganda mulimu abazira kisa abasobola okuyamba abalala abali mubwetaavu.