Site icon Uganda Today

Amelia Alaze Embala Eyanjawulo Mubyobufuzi

Amelia Kyambadde nga ayagaliza Kiyaga eyamuwangula ku kkono ekisanja ekirungi. Addiridde Kiyaga Ye Tereza Nambooze era naye eyawangula ekifo mukitundu ekyo

Bannabyabufuzi abasinga oluwangulwa Ku bifo byebaba besimbyeko, nga baggulawo empalana kasiggu ku ababawangudde. Omubaka we Mawokota North Ameria Kyambadde alaze enjawulo bwayagalizza banna NUP abaamuwangula okuli Hilary Kiyaga ‘Dr. Hilderman’ ne Tereza Nambooze ekisanja ekirungi.

Amelia yabasisinkanye mu kuziika Sarah Zimula Mugwanya namwandu w’eyaliko Omubaka w’ekitundu kino mu parliament Zimula Mugwanya.
Kiyaga yeyamye okusigala nga yebuuza ku Amelia naddala ku nsonga z’obukulembeze.

Exit mobile version