Ekifo kyoka ekisinga okuba ekyomulembe omuntu wayinza okubeera y’ensi ebweeru we Kkomera. Bwotunulira ebintu mu bwangu, olaba nti ensi yamutawaana nnyo okubeeramu. Obutabanguko bwamuggirano era kiraga nti obutonde bw’omuntu bulina ebitaatuukirira bingi. Ddala ddala si buli muntu nti ayayanira okutuusa obulabe ku munne, naye era waliwo abantu bangi abawaalirira kulumya banaabwe, ate era bakikola awatali kuwalirizibwa. Olwokuba ensi yabulabe, okulungamya abazzi b’emisango kyamugaso nnyo olwokubeerawo kwabantu nga balamu bulungi. Amakomera gaatekebwaawo, okukuumiramu abazzi b’emisango, ate amakomera agamu, gaatekebwaawo okkumiramu abazzi b’emisango egya naggomola. Bano bebateeka ensi kubunkenke.
Nga essuubi ly’obwenkannya bweriyinza okufunibwa nga tuyita mukubonereza abazza emisango, naye okkuumira abazza emisango egya naggomola awamu mumakomera, kiretera amakomera okuba ebifo eby’omutawaana ennyo mu buli ngeri. Kini nno, bwogattako abakozi mu makomera okuba abakooza abasibe akagiri, kiretera abasibe okulwanagana buli lukya okusobola okuba abalamu oba okufuna kubuwerero. Wammanga lwe lukalala lw’amakomera 10 agasinga okuba ag’omutawaana munsi yonna.
Gasengekeddwa nga tutandikira waggulu
10. San Quentin Prison
San Quentin lyatandikibwaawo mu 1852 era lye komera erisinga okuba ekkadde mu California. Newankubadde ekomera lino lirina omukka gwa gaasi, okumalawo obulamu bw’basibe abasalirwa ogw’okufa, battibwa bakubibwa mpiso. Obutabanguko kumpi kyaluberera mu San Quentin newankubadde ekomera lino lirina abaserikale bangi nnyo. Ekyewuunnyo ekyamaanyi nga kiva mukusosola mu langi kyaaliwo mu 2006, abasibe abasoba mu 100 baatusibwaako ebisago eby’amaanyi. Babiri kubo baafa. Ekomera lino limanyiddwa nnyo olw’embeera yalyo embi ennyo.
9. Bang Kwang Prison
Bang Kwang Prison lisangibwa mu Bangkok mu Thailand era lyakazibwaako erya “Bangkok Hilton” kifo ekitegombesa muntu yenna kutwalibwaayo. Lino limanyiddwa nnyo mu kutulugnnya abasibe, abasibe basibibwa mu busenge obw’omujjuzo oguyitiridde era n’abo abokuttibwa batera kuweebwa essaawa ezitasukka bbiri nga okubalabula ku ekyo ekigenda okubatuukako.
8. Rikers Island Prison
Rikers Island Prison Limanyiddwa nnyo olw’mukululo gw’obutabanguko bwa basibe. Omusajja amanyiddwa nga John Reyes eyali omuserikale mu komera eryo, mu 1991 yalaga nga bweyalinanga omweralikirivu kumpi buli lunaku olwo kkubwanga n’okutemulwa byeyalabanga. Olw’obutabanguko buno, kati ekomera lino ly’erimu ku makomera agasinga okukwata amateeka obutiribiri mu nsi yonna era kino, kiyambye nnyo okukendeeza omuwendo gwabasibe abafumitibwa buli mwaaka okuva ku 1,000 okudda ku 70.
7. Alcatraz Island Prison
Newankubadde ekomera lya Alcatraz Island erisangibwa kumbalama za San Francisco, California, lyaggalwa emyaaka mingi emabega, lyabangamu abazzi b’emisango abasinga okuba abomutawaana ennyo mu byafaayo. Lyalina omusibe eyayatiikirira ennyo “Al Scarface”. Ekomera lino lyaali limanyiddwa nnyo olw’abasibe okugezaako okubomba n’okutoloka entakera. Muno mwemwaali okugezaako okutoloka okwatuumibwa “battle of Alcatraz” mu Mayi 1946. Lyawalirizibwa okuggalwaawo mu Maaki 1963 olw’ebikolwa ebibi ebyaleetawo okusasannya ensimbi empitirivu okusobola okuliyimirizaawo.
6. ADX-Florence Supermax Facility
ADX- Florence erisangaibwa mu Colorado lyategekebwa okkumiramu abazzi b’emisango egya naggomola nga bangi kubano balina kuggalirwa kinoomu mukisenge. Abasibe bawaaba omusango nga bemulugunya nti embeera yokusibwa kinoomu yali ereetawo okutulugunya abasibe nga tewali banaabwe balaba bikolobero bibakolebwaako.
5. La Sante Prison
Paris, France kyekifo awasangibwa ekomera lya La Sante Prison. Lino limanyiddwa nnyo abasibe okwetta nga bali mu busibe. 1999 abasibe 124 betta. Ekomera lino likiriza abasibe okuvaako mu businge mwebasibirwa esaawa nnya zoka buli lunaku. Ekomera lino litondawo emitendera gyabasibe ekifuula abasibe abamu okuba ab’enkizo kubalala, kino nekiretera abasibe abatalina maanyi okuyisibwa obubi ennyo.
4. Diyarbakir Prison
Embeera y’ekomera lino erisangibwa mu Turkey mu Dyarbakir mbi nnyo eri obulamu bwabasibe. Ekyalisiiga enziro embi kwekusiba abaana abato ekiseera ekiwanvu. Okweyisa obubi kusinga kumanyibwa nnyo okuva mu baserikale nga ogerageranyiza kubasibe. Mu 1996 abaserikale nga bakolaganira wamu ne poliisi, bakuba abasibe 10 nebafa ate abalala 23 nebalumizibwa nnyo.
3. La Sabaneta Prison
La Sabaneta lisangibwa mu Venezuela mu South America lyazimbibwa okkumiramu abasibe 15,000 naye likuumirwaamu abasibe 25,000. Lirina abaserikale batono ddala nga omuserikale omu alabirira abasibe150. Lino libaamu entalo nnyingi era mu 1994, olutalo olwamasasi, lwafiiramu abasibe 108, ate abalala abasibe 196 baafa n’abalala 624 nebalumizibwa nnyo mubutabanguko obwaali mu komera lino mu 1995.
2. Tadmor Prison
Tadmor Military Komera erisangibwa mu Syria, limanyiddwa nnyo mukubonyaboonya abasibe. Amnesty International nga kino kitongole kya nsi yonna ekirwanirira eddembe lya buli muntu, kyalyogerako nga lino “ekomera bweryakolebwa okutyoboola eddembe lyabasibe”. Ekikolwa ekibi ennyo kyaaliwo mu 1980. Pulezidenti Hafeza Al-Assad bweyasimattuka okutemulwa abakambwe ba “Muslim Brotherhood”. Kigambibwa nti pulesidenti yalagira abaserikale okutta buli musibe gwebalabako nga awolera egwanga olw’obutemu obwaali bugezeddwaako kubulamu bwe. Tadmor lyaggalwa mu 2001 ate neriggulwaawo mu 2011. Kati lyakeendeeza kukutyboola eddembe lyabasibe.
1. Carandiru Penitentiary
Carandiru Penitentiary mu Brazil mu South America ligambibwa nti ly’ekomera erisinga okuba ery’omutawaana munsi yonna. Mu 1992 okutirimbulwa kw’abasibe kwaaliwo abasibe 102 nebakubwa amasasi nebafa. Ebyobulamu mu komera lino nabyo bibi nnyo. Muddwaliro mu komera lino omu, kubuli basibe bataano alina akawuka akaleeta mukennenya (HIV).
Newankubadde nga ebweeru w’amakomera nayo eriiyo ebizibu, naye amakomera awatali kubuusabuusa, byebimu kubifo ebisingamu obutabanguko munsi yonna. Amakomera mwemubeera abantu abasinga okuba ab’omutawaana webaggalirwa. Newankubadde waliwo amakomera mangi ag’omutawaana munsi, gano 10 gatwaala ekifo kyakumwanjo okuba agomutawaana.