Sipiika Asabye Akakiiko Ka COSASE Kannonyerezebweeko

 

Bamuturaki Jennifer ng’ali mu kakiiko ka COSASE akakulirwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi

Ensonga y’alipoota eyakolebwa akakiiko akavunanyizibwa ku kulondoola enzirukanya y’ebitongole bya gavumenti mu palamenti aka COSASE ebigiwalidde bannamawulire awamu ne Ssentebe w’akakiiko kano Joel Ssenyonyi oluvanyuma lwokizuula nti yafulumira mu mikutu gy’amawulire nga palamenti tenagifuna.

Akakiiko aka COSASE kaakola okunoonyereza ku kitongole ekivunanyizibwa ku nnyonyi ze ggwanga ekya Uganda Airlines ku ngeri gyekyaali kiddukanyizibwamu ekintu ekyaletera ekitongole obutakola magoba mu myaaka essatu egiddiringana okusinziira ku alipota y’okubazi webitabo bya gavumenti, awamu n’engeri abakungu abamu gyebaafuna emirimu n’ensonga endala. Mukakiiko kano kyazuulibwa nti abamu ku bakungu mu kitongole kino tebalina bukugu bwetaagisa mu bifo byebalimu , abalala enfuna gyebaafunamu emirimu yali ssi nambulukufu n’ensonga endala, era nga alipoota y’akakiiko kano erina byeyawa byeyagala okuba nga bikolebwaako .

Wabula kino eky’okuba nga alipoota yafulumizibwa mu mikutu gyamawulire kye kireetedde Ssentebe w’akakiiko obuzibu anti olukiiko lweggwanga olukulu lutandise okunoonyereza ku ngeri alipoota eno gyeyatuukamu mu mawulire .

Mukuggulawo olutuula lwa leero olwa palamenti omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anita Annet Among ategeezezza nga ababaka bwebafunye omuze ogwo kufulumya alipoota mu mawulire nga palamenti tennaba kugifuna nga n’olwensonga eyo ekikolwa kino kiteekeddwa okukomezebwa.

Among ategezezza nga ensonga eno bweri enkulu era nti kimuwalirizza okusisinkana akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga okulaba nga ensonga eno esalirwa amagezi era nokuzuula obuzibu webwaali .

Sipiika ategeezezza nga bwebaagala okumanya ani yafulumya alipoota eno mu mawulire nga tennaba kwanjulwa mu palamenti era n’okukubaganyizibwaako ebirowoozo era nti tebajja ku kiwa kyaanya kugenda mu maaso, ono era ajjuliza obumu kubuwaayiro obufuga ababaka ba palamenti ku kufulumya alipoota z’obukiiko .

Nga amaliriza ku nsonga eno ategeezezza nga bwebaagala alipoota ku kikolwa kino okuva ew’akulira oludda oluwabula gavumenti nga nabo bwebakola okunoonyereza okwaabwe.

Ng’akakiiko kano kakyakola okunoonyereza akulira ennyonyi y’eggwanga Jennifer Bamuturaki yatutumuka nnyo olw’enziramu gyeyaddangamu ebibuuzo, kungeri gy’eyafunamu omulimu guno n’engeri gyaddukanyaamu ekitingole kino.