Alien Skin Akotakotera Mu Galumonde
Makolo Kavuma akukkukulumidde Alien Skin.
Uganda Leero: Makolo Kavuma akukkukulumidde Alien Skin
Emyaka giweze nga Obwakabaka bwa Buganda butegekera abantu baabwo ekivulu ekifundikira omwaka ekimanyidwa nga Enkuuka. Era nga Kabaka waffe yaggalawo omwaka omukadde ate natugulirawo omwaka omupya .
Naye bukya bw’akabaka butandika kutegeka kivulu ekyo tewabangawo muyimbi ategeka kivulu ku lunaku lwa 31/12/ wabula bategeka nga lumu nga abayimbi ekibakoza ekyo baleme kulabika nga abagala okuvuganya Obwakabaka olwensonga, ku lunaku olwo Kabaka alabikako eri obuganda era nga abayimbi bonna bayina kuba mu Lubiri awali Kabaka.
Naye ku mulundi guno byakyuseemu anti omuyimbi amanyidwa nga Allien Skin (Mulwana ) ategese ekivulu ku lunnaku lwe lumu olwe Enkuuka, ekintu kyendaba nga abatayagala Bw’akabaka bwafe ne Kabaka waffe kyebatandise okozesa nga bavuganya Obwakabaka sinakindi nokubulwanyisiza muli simanyi oba bwenkiraba namwe bwe mukiraba .
Ekirala newuunya nnyo management ye ekisaawe kye wankulukuku okukiriza concert ya Allien Skin okutegekerwa e Wankulukuku ku kisaawe ekiddukanyizibwa Omumbejja Sarah Kagere simanyi oba ba manager bekisaawe baakikoze nga Omumbejja takimanyi.
Nzize ku mutegesi we Nkuuka Abtex promotions, bwooba ddala wasobola okuyita Eddy kenzo okuyimba mu Nkuuka lwaki Allien Skin tewamuyise ayimbe ensi nekimanya nti aganye bugaanyi ? Okusinga okuwa omulabe w’obwakabaka omukisa okozesa Allien Skin kuba kino kirabwa n’ayonka nti waliwo ali emabega wa Allien Skin okutukiriza kiri Kabaka kye yagamba gye buvuddeko nti Obwakabaka bwaddawo naye waliwo abatabwagala era ababulwanyisa .
Emu ku nsonga lwaki nzize mpa endowooza yange nga njagala Musinguzi Abbey okuddamu okutegeka Enkuuka kwekuba nti buli lw’abaddenga ategeka enkuuka kibadenga kisuffu kuba ye Kafulu kye ndowooza nti kweekyo tukaanya ffena naye tukirize ku mulundi guno Abtex obusungu bwamukozeseza ensobi.
Mpa Allien Skin amagezi muganda wange nkwagala nnyo kuba olina bangi boyaamba naye nkwewaza okkukozesa mu kulwanyisa Obwakabaka kuba oyinza obutamalaako nakyo bwekiba kituufu nga bwenabiwulidde nti waliwo abakutaddemu sente olwensongazo ne Abtex obusungu obwetuumbizi tebuddamu kukozesa ensobi kyendowooza Abtex bwatandikuyise kuyimba mu nkuuka waandittuzizza press conference notegeeza ensi nti banange nze mbadde mwetegefu okuyimbira Kabaka wange naye abategesi tebampise obadde wejeredde.
Maliriza nkubiriza abantu ba Kabaka mwena tweyiwe mu Nkuuka okubugiriza Kabaka tuswaze abo abalowooza nti basobola omunafuya nga bayita mu bayimbi abamu.