Alhajj Nadduli Lweyalajaanira Museveni Aleme Kumutta

Laba Akatambi Kano Akawunikiriza Omuwi Wa Magezi Eri Pulezidenti Museveni, Alhajj Nadduli Nga Asaba Museveni Amulekere Obulamu. Nti Era Singa Kamutanda Naamutta, Naye Museveni Yali Wakumugoberera Mu Nnaku Satu Zokka.

Nadduli teyetaaga kwanjulwa kwamaanyi okuviira ddala mu lutalo olwaleeta Museveni mu buyinza, nga ono yeyali omusawo ow’ekiganda mu Nsiko. Era ye, yeeyita mulwanyi munne wa Museveni ow’okumwanjo.

Uganda Leero: Nadduli eyawulikika nga akola ekiramo ekyomukamwa yalayira nti Museveni kamala amutta, naye yali wakumugoberera mu nnaku satu.

Nadduli yeebuuza nti Museveni ayagala baana baani mutabaniwe Muhoozi Keinerugaba baanasigala nabo nga bo bavudde munsi? Kino Nadduli yakyogera nga ansinziira kumbeera mutabaniwe gyeyali ayitamu nga ali mu mikono gya gavumenti ya Museveni.

Jakana Nadduli, mutabani wa Alhajj Nadduli yafa oluvanyuma lwokusibibwa mu Komera, okutomerwa emmotoka n’okutlugunyizibwa aby’ebyokwerinda nga bino byonna byaateekebwa ku gavumenti ya Museveni olwokuba nti yali agivumirira enkya ne ggulo.

🔻 Follow us on  X: @uganda43443

Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis

Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk

Advertising Toyota Vigo

Website: https://www.ugandatoday.co.ug

WhatsApp: +256 702 239 337

X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews

Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!