Akulira Omutuba Gwa Mukuma Mu Kika Kye Ngonge Mu Ssiga Lya Lutaaya Atuuziddwa
Ssembatya Simon Radox, mutabani wa mwami Kitandwe Daniel, Muzzukulu wa Yusuf Wamala Mukuma, Muzzukulu wa Asane Phillip Mukuma, te nga era Muzzukulu wa Kakeeto Nkumba Musoke nga bano bonna bagalamidde e Sempa ne Lukooge- Sempa Bulemeezi, yatuuziddwa ku ntebe yokukulembera omutuba gwa Mukuma. Yatuuziddwa omukulu w'essiga lya Lutaaya e Bbongole mu Busujju, jjajja Kivumbi Koprian. Yakakkasiddwa Omutaka Kisolo Ssebyooto Muwanga Kaboggoza Mathias owakasolya mu Kika kye Ngonge

Uganda Leero: Akulira Omutuba Gwa Mukuma Mu Kika Kye Ngonge Mu Ssiga Lya Lutaaya Atuuziddwa.
Ku mukolo ogwabaaddewo nga 04 mu mwezi ogwa Muzigo (ogwokutaano) ku Mbuga y’omutuba e Sempa, era nga gwetabiddwaako Omutaka Kisolo, akulira Ekika kye Ngonge Ssebyooto Muwanga Kaboggoza Mathias , Minisita wa kabaka akulira eby’obuwanga ne nnono oweekittibwa Anthony Wamala, Amyuuka Kangaawo, Muzzanganda David Lule, (ono yekka yataabadde wa Ngonge) Ssenkulu wa BBS Terefayina, omukungu Patrick Ssembajjo, nga bano bonna bazira Ngonge, beetabye ku mukolo guno ogwabadde gw’ekiibwa.

Mwami Ssembatya Simon Radox nga ono Musawo omukugu mu by’okujjjanjaba obusimu n’ebinnywa (Neurologist and physical therapist), atuula ku Mbuga ya Mukuma e sempa Bulemeezi, ne mukyalawe Nalwanga Patricia Ssembatya muzzukulu wa Nsamba eyeddira Engabi, mutabani wa mwami Kitandwe Daniel, Muzzukulu wa Yusuf Wamala Mukuma, Muzzukulu wa Asane Phillip Mukuma, ate nga era Muzzukulu wa Kakeeto Nkumba Musoke nga bano bonna bagalamidde e Sempa ne Lukooge- Sempa Bulemeezi, yatuuziddwa ku ntebe yokukulembera omutuba gwa Mukuma.

Yatuuziddwa omukulu w’essiga lya Lutaaya e Bbongole mu Busujju, Jjajja Kivumbi Koprian. Yakakkasiddwa Omutaka Kisolo Ssebyooto Muwanga Kaboggoza Mathias owakasolya mu Kika kye Ngonge.
Omukolo gwabaddeko okutongoza akatabo k’abayizi akasomesa ebisoko n’engero eby’olungereza akayitibwa (Learn Idioms and Proverbs). Kano kawandiikibwa omusomesa eyawummula ate era nga muzzukulu wa Kisolo era nga muzzukulu wa Mukuma Samallie Nabiyiki Ssensonga. Akatabo kaatongozeddwa minista wa Kabaka ow’ebyennono n’obuwangwa owekitiibwa Anthony Wamala.

Omukolo gwabaddeko okusaba kw’okujjukira olunnaku lwa Phillip Mukuma eyabbulwamu ekkanisa ye Sempa Church of Uganda eyatandikibwaawo mu 1923. Phillip Asane Mukuma yawaayo ettaka yiika 10 okutudde ekkanisa ne somero lya Sempa. Okusiinza kuno kwakulembeddwaamu Ssaabadikoni we Luteete eyakikiridde omulabirizi we Luweero.

Omukolo gwabaddeko n’okumaliriza enyimbe bbiri, gwaabaddeko abasanyusa ab’engoma enganda namazina amaganda abaavudde e Kireka mu Kampala.

Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.