Site icon Uganda Today

Abateberezebwa Okuba Ababbi Baakwattiddwa Mu Mubikwekweeto Bya NEMA

 

Poliisi n’ekitongole ekivunanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi ekya (NEMA), kati abali mubikwekweeto byokugumbulula abantu abatali bangeri zimu, abesenza n’okukolera mu Ntobazi, wano mu Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo,  bazinzeeko omwami n’omukyala bebasanze mu Lubigi n’ebintu byabantu abalala biingi nga muno, mulimu, endaga muntu, namba za motoka ne kalonda w’ebintu ebirala biingi ebitali byaabwe.

Nayebare Rahuma mukyala wa Terwane nga atuuziddwa wansi oluvanyuma lwokusangibwa n’ebintu ndulundu ebya bantu abalala

Terwane Akimu, Ow’emyaka 40, ne mukyalawe Nayebare Rahuma bebasangiddwa n’ebintu bino mu kayumba kaabwe akamenyeddwa.

Endulundu zendaga muntu zebasanze nazo

Abakwaate bano kati bakuumirwa ku poliisi e Nabweru.

Tuwereze ebirowoozo byo byolina ku ggulire lino ku WhatsApp +256 702 239 337 +256 414 500 640 oba Email ugandatodayedition@gmail.com

Exit mobile version