
Uganda Leero: Abantu Beekyaaye: Wuliriza Rev. Father Ono Teyalumye Mu Bigambo
Nga Eggwanga lyeyongera okulumwa obugigi bw’obukulembeze obunyigiriza bannansi, abantu abenjawulo basazeewo obutakyalinnya ku biziyiza okusobola kutegeeza bannaabwe nti obukulembeze bwa Museveni bwaava dda ku mulamwa ogwokukulembera Eggwanga nga bugoberera Ssemateeka.
Wano, jjo lya balamu, Museveni ne mukyalawe, baasomye ekiwandiiko mwebaalagidde nti betondera bannansi olwebikolobero byebatusiiza ku bebakulembera, naye ate amangu ddala nga baakamala okukisoma, Museveni yenyinni yeetemye engalike nga ayogera ebitajja ku Mmere misana bweyayongedde okulaga nti byebabadde baakasoma, bwaabadde bulimba bwereere. Yayongedde okulambulula obulimbabwe bwonna bweyagambye nti “Ob’oludda oluvuganya baamubba obululu obukadde 2, mu kalulu ka 2021 nti era nakalulu akokuddibwaamu mu Kawempe North Constiyuency, ab’oludda oluvuganya, baali babbye obululu, naye nabatebuka nga akozesa Kooti!.
Naye Ani Ataalaba Bikolobero Byakolwa ku Bantu B’eKawempe ku Biragiro Bya Museveni?
Amagye ga JATT ne Poliisi baakuba aba NUP okubogoloza nga babamenya amagulu, babagoba awali okulonda n’okubawamba nga balowooza abantu, baali baakukoowa baleme kukuuma kalulu kaabwe olwo bbo bakole ogwaabwe ogwokubba akalulu baleete omuntu waabwe abantu gwebatayagala. Kino kyaabalema okuva eggulo limu, Joel Ssenyonyi ne Rubongoya bwebaagwa mu Mpuku y’aggabbi mu Nyumba ya RDC e Nammere.
Abantu Beekyaaye
Nga Rev. Father ono bwaakalattira abantu, baategedde olukwe lwa Museveni okukozesa Palamenti ne Kooti y’Amagye okukwaata buli gwebalaba nti ‘abuusa’ banna Uganda nga enjogera ye nnaku zino bweeri, bamutwaale mu Kooti y’amagye, ye Museveni gyaawa ebiragiro byebatasobola kugaana, asibibwe olwo abalala bonna bayigire okwo, waleme kubaawo mulala yenna yetantala kuwakanya bukulembezebwe. Kino nno kyeyolese lwaatu Sipiika wa palamenti bwe yakawangamudde nti tayagala kuwulira muntu amujuliza kawayiiro namba 92 aka Ssemateeka akakugira palamenti okuyisa etteeka erikyuusa okulamula kwa Kooti okuba kwaayisibwa emabegako. Kinajjukirwa nti etteeka erikugira omuntu atali wa Magye okuwozesebwa mu Kooti y’Amagye lyayisbwa Kooti y’okuntikko nga 31 Gattonya (Janwaari) 2025.
Kale nno obudde bwagayegaye dda, tewakyaali kudda mabega mu lutalo lwokuzza obuyinza bwobukulembeze mu bantu nga bagondera n’okuwuliriza Ssemateeka we Ggwanga.
Bannaddiini Besowolayo Buli Lukya
Father waba Kulisitu yegattiddwaako ono owaaba Kulisitaayo naye eyattadde akaka awatali kwefeffetta nakatono.
Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—






