Site icon Uganda Today

Abakonjo N’engeri Gyebayambamu Abakyala Okuzaala

Buli Ggwanga lirina engeri n’obuwangwa byebayitamu okusobozesa abakyala Okuzaala obulungi.

Wano mu Buganda omukyala ayigirizibwa okulya obulungi nga muno mwotwaalidde okulya ennyo ebibala, okunywa emmumbwa n’okugenda mu Ddwaliro okunywa eddagala ly’ekizungu okuva lwelyajja.

Ette bbo aba Konjo, kitaawe w’omulenzi Atwaala Obuvunanyizibwa okugenda munsiko naanoonya eddagala lyasiba naliteeka mu katebe kebayita (Ekihuhu) kaaluka n’ebyaayi nekaguma naakatwalira mukamwaana atulengaako.

Ekihuhu

Bakiriza nti eddagala eriyitibwa (Engoba) Ssezaala lyateeka mukatebe liyamba okugonza amagumba ga bbunnwe (pelvic bones) buli omukyala lwakatuulako nasobola okwanguyirwa okuzaala.

Exit mobile version