Nambooze Ayagala Speke Resort Munyonyo Emmenyebwe

Kino Kyawalirizza Nambooze Okusaba Ekitongole Kya Gavumenti Ekya NEMA Nti Bwebaba Balwanirira Okukuuma Obutonde Balina Okuzingiramu Buli Muntu Kakibe Kitongole Oba Omuntu Kinoomu.

Ekitebe ekikulu ekya kampuni ya Stabex e Nansana okuli ne ssundiro lya mafuta. Ekizimbe kya kampuni eno eva Kenya kyekyokka ekyataliziddwa aba NEMA.
Abantu abaakoseddwa ekikwekweeto kino nga begattiddwaako abatuuze abalala, baweze okwekalakaasa nga bolekera yafeesi za NEMA olunnaku olw’enkya nga 19.06.2024

Uganda Leero: Nambooze Ayagala Speke Resort  Munyonyo Emmenyebwe

Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke (NUP) nga asinziira kubikwekweeto ab’ekitongole ekikola kukuuuma obutonde bwensi, ekya (NEMA) byebatandika okukola nga bammenya amayumba g’abantu n’amadduuka sabbiti ewedde, ate nga kino baakikola nga basosola mu bitongole n’abantu kinoomu.

Ebikwekweeto bino, NEMA byeyatandikira mu Lubigi bigenze bitaliza ebizimbe by’ebitongole naddala ebyo ebyabagwiira. Okusinziira kububaka obwafulumiziddwa aba NEMA ne Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, bagamba nti bataliza kampuni ya mafuta eya Stabex e Nansana nga bekwaasa nti bano bbo baaweebwe olukusa (licence) okuzimba n’okukolera mu Lutobazi lwa Lubigi.

Kino Kyawalirizza Nambooze okusaba ekitongole kya gavumenti ekya NEMA nti bwebaba balwanirira okukuuma obutonde balina okuzingiramu buli muntu kakibe kitongole oba omuntu kinoomu.

Wano weyakangulidde ku ddoboozi naasaba aba NEMA okusittukiramu amangu n’embiro bagende bammenye Wooteri bwaaguuga eya Speke Resort Hotel Munyonyo eyazimbibwa ku Nyanja Nalubaale. Mu katambi akalaga ebimottoka nga biyiwa ettaka namayinja mu Nyanja Nalubaale (Lake Victoria), okusobola okugaziya  Wooteri eno, kyaatandika dda okuviirako amazzi okuva mu Nyaanja Nalubaale okwanjaliira mu Nnimiro n’amayumba g’abantu okwetoloola  e Nyanja eno yonna gyeyita.

Advertising Toyota Vigo

Laba era owulirize Nambooze mu katambi kano:

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!