Mutabani wa eyaliko minista Alhajji Abdulu Nadduli era nga yaliko ne Ssentebe wa Luweero disitulikiti Jakana Nadduli enkya yaleero asangiddwa nga mufu mu makaage e Wobulenzi mu Luweero
Jakana Nadduli abadde muvubuka ateerya ntama era nga ayogera n’enyenje nezigwa nga avumirira lyabadde ayita efuga bbi lya gavumenti ya Museveni.Jakana yavuganyaako ku bwa memba wa palamenti mu Nakaseke disitulikiti, nga ayima mu kibiina kya NRM, naye nga bwegwaali ku ba memba ba NRM mu Buganda wonna, Jakana naye yawangulwa.
Abantu ab’enjawulo Bamukungubagidde
Ntegedde okufa kwa Jakana Nadduli mutabani wa Alhajji Nadduli. Yawambibwa ennaku ntono emabega, natulugunyizibwa era namala ennaku nyingi nga tamanyiddwa wa gyaali. Mu mweezi ogw’okusatu yagwa ku kabenje keyalowooza nti kaali kateeketeeke abalabebe.- Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine
Tuzukusse okuwulira amawulire agennaku ag’okufa kwa muganda waffe Jakana Nadduli. Ab’omunjuye bagamba nti yasangiddwa mu njuuye nga afudde, ennaku ntono nnyo oluvanyuma lw’okuteebwa okuva mu kaddukulu. Nayogera naye ku lwomukaaga era yawulikika nga ali bulungi. mawulire mabi nnyo.-Davis Lewis Rubongoya
Mu Sebutemba Sulayimani Jakana Nadduli yawambibwa ab’ebyokwerinda ba gavumenti nga bakozesa emotaka eyentiisa (Drone) newankubadde nga yali mulwadde era nga atambulira ku miggo, gavumenti yali nsanyufu okumukuumira mu kaddukulu!! Yateebwa ku kakalu ka Kooti sabbiiti ntono emabega, ate kumakya galeero abikiddwa nti mufu!! Kitalo!! –Matthias Mpuuga