Ee Banange Nabe Yakuba Dda Amaka Ga Muwala Wa Museven?
Diana Museveni Kamuntu Asabye Agyibweeko Erinnya Lya Kamuntu
Nabe kiwuka ekirya ennyo Enswa, era omussi we Enswa, bwaaba teyegenderezza nagayalirira Enswaze mu Nvubo okumala ekiseera ekiwanvu, ayinza okusanga nga envubo kizimazeemu. Wano Abaganda webajja enjogera egamba nti Nabe yakuba dda amaka g’omuntu gundi oba gundi.
Muwala wa Pulesidenti Museveni Diana Kamuntu awaddeyo mubutongole okusaba kwe eri ekitongole kya NIRA nga asaba agibweeko erinnya lya Bba “Kamuntu”.
Mukiwandiiko ekisaba kino nga kyawandiikibwa nga Sebutemba 29, era nekikubibwa mu Luppappula lwa Gavumenti olutongole (Gazette), muwala wa Museveni asaba addeyo ayitibwe amannyage amakadde Diana Museveni Kyaremera.
Amawulire gano agewuunyisa abaangi naye ate nga okuva musonda ezesigika okuva mu Maka gw’obwa pulezidenti e Ntebe, galaga nti Diana ne Bba Kamuntu, babadde tebakyabeera wamu okumala ekiseera. Kamuntu Musajja Musuubuzi.
Diana ye muwala wa Museveni asembayo nga totaddeeko omuwala ow’omukyala omulala Dr. Kakyisozi eyafumbirwa gyebuvuddeko akatono. Diana, yaakola nga omukungu ow’okuntikko okulabirira bizinesi z’enyumba ya Museveni.
Ababiri bano bafumbiriganwa mu mwaaka gwe 2004 era nga balina abaana 3, omuwala omu n’abalenzi 2.
Bweyali ayogeraganyaako n’ab’eggulire lya Magazine emyaaka miingi aamabega, Diana yategeeza nti yalabagana ne Bba Kamuntu, mu Maka ga mukuluwe Natasha Karugire gyeyasisinkanira Kamuntu naye eyali akyalidde Karugire mukwaano gwe. ” Namwagalirawo era nemusiima kubanga musajja alabika obulungi ate nga waddembe omuntu yenna gwasobola okwegwanyiza.”