Nsereko Agamba Nti Matthias Mpuuga Akolimirwe Olw’okulya Mu Banne Olukwe

Kino kyanyiiza Mpuuga naasalawo okwewaggula ku NUP n'oluvanyuma naatandikawo ekisinde ekikye ate kyeyafuula naakiwandiisa nga ekiubiina ky'ebyobufuzi kye yatuuma Democratic Front (DA).

Muhammad Nsereko, nga ali mu emu ku studio yamawulire nga avumirira Mpuuga

UgandaToday: Uganda Leero: Nga Abaganda bwebalugera ebibuuka bitalagaanye.

Kati n’eyali omubaka w’olukiiko olukulu olw’eGgwanga nga agenda kuwummula okukiikirira ekitundu kino, Muhammad Nsereko, avuddemu omwaasi navumirira mubaka munne luno jjoi ly’abalamu, eyefuulira mu kiti nga Embazzi nagaana okuwuliriza mukamaawe era omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu gwebaali bakkanyiza naye  nti  azzeeyo obukadde bw’ensiimbi 500 ye Mpuuga zeyafuna nga kyajje eyuingire mu kifo ky’obukulembeze mu Palamenti nga akulira oludda oluwabula gavumenti.

https://play.google.com/store/apps/details?id=savestatus.videodownloader.storysaver.statuskeeper

Ensiimbi zino, Mpuuga ne banne abalala 3 baali bazegabanyiza nga Mpuuga yeyali asinze okufuna enyingi. Obukadde 500 ate banne, okuli Prossy Akampurira Mbabazi, Solomon Silwany ne Esther Afayochan buli omu yafuna obukadde 400.

Mpuuga nga amaze okugaana okuzzaayo ensiimbi  z’omuwi w’omusolo zino, nga 23/12/2023, Kyagulanyi yamuwumuza  namuisikiza Joel Ssenyonyi nga omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti (LOP).

Kino kyanyiiza Mpuuga naasalawo okwewaggula ku NUP n’oluvanyuma naatandikawo ekisinde ekikye ate kyeyafuula naakiwandiisa nga ekibiina ky’ebyobufuzi kye yatuuma Democratic Front (DA).

Advertising Toyota Vigo

Bweyali akitongoza yayita ne Munywaanyiwe Muhammad Nsereko namukakasa nga bweyali ajja okukyuusa eby’obufuzi mu Ggwanga  nga ayita mu kukola enkyuukakyuuka mu mateeka gebyokulonda, nti era naye yali wakwesimbawo nga pulezidenti mu kalulu akabindabinda.

Naye ate mu kiseera kino nga Mpuuga yeekyusirizza mu kiti nga Embazzi nga buli kyeyayogera talina kyaakoze, Muhammad  Nsereko amuyise munanfuusi awedde emirimu era agwaanidde okukolimirwa.

#UgandaLeero #UgandaToday #PhoenixNewsFeeds #OperaNewsFeeds

 

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!