Obulabirizi Bwa West Buganda: Omulabirizi Henry Katumba Tamale Baayagala Okumuddira Mu Bigere Baliko Ebibuuzo Bingi

Kigambibwa nti Rev. Can. Herbert Matovu ebitabo tebyawera bulungi naye bagamba nti Omulabirizi Katumba y'omu ku bantu ababiri b'atembeeta baasobole okumuddira mu bigere. Era Ensonda enneekusifu zigamba nti Matovu nga tannafuuka mwawule yali akola nga Subcounty Senior Accounts Assistant, naye mbu yabulankanya ensimbi za NAADS mu Masaka District era n'agobebwa era nassibwako okubuulirizibwa.

Matovu Frederick Herbert Diocesan Treasurer, ono aliko ebibuuzo ebiwera omuli n’ekykubulankanya ensimbi za NAADS e Masaka nga tannaba kwesogga buwereza mu Kannisa

Uganda Today/Uganda Leero: Obulabirizi Bwa West Buganda: Omulabirizi Henry Katumba Tamale Baayagala Okumuddira Mu Bigere Baliko Ebibuuzo Bingi

Omulabirizi ow’omukaaga Bishop Henry Katumba Tamale, agenda kuweza emyaka 65, mu mwezi gwa March 2025, ekimukakatako mu Ssemateeka w’e Kkanisa ya Uganda okuwummula.
Abatuula ku lukiiko lw’Obulabirizi bwa West Buganda (Nominations Committee) obulina ekitebe kyabwo e Kako mu Masaka ku Lwokubiri nga 14 January 2025 baatuula mu lukiiiko nebasunsula amannya g’abantu 8 kwe banoonya amaanya abiri aganaawerezebwa mu Lukiiko lw’abalabirizi (House of Bishops) okulondako anaalya Obulabirizi.
Rev. Nuwagaba kigambibwa nti tannaweza myaka 10 mu buweereza ate nga Ssemateeka w’ekkanisa ya Uganda akirambika bulungi nti Omuntu okulondebwa okuba Omulabirizi, ateekeddwa okuba nga amaze mu buweereza emyaka egitakka wansi wa kkumi (10).
Mu lukiiko olwatudde okuva ku ssaawa ssatu (3) ez’okumakya okutuusa ku ssaawa mwenda (9) ez’olweggulo mu Brovad Hotel mu Kibuga ky’e Masaka nga terwakkiriziddwamu bannamawulire, lwabaddemu abantu 15 bammemba b’akakiiko akasunsula amannya g’abagenda okulondebwako Omulabirizi (Nominations Committee). Lwakubiriziddwa Munnamateeka w’Obulabirizi Stanley Kawalya (Diocesan Chancellor).
Baalonze abaawule 8 abaawaayo okusaba kwabwe okuva mu mannya agaabadde gawerera ddala 20 era nga muno mulimu;
1. Rev. Can. Moses Kayimba Omuwandiisi w’Obulabirizi,
2. Rev. Can. Herbert Matovu -Omuwanika W’Obulabirizi
3. Ven. Can. Gaster Nsereko – Ssaabadiikoni w’e Kakoma
4. Ven. Can. Patrick Ssimbwa- Ssaabadiikoni w’e Sembabule
5. Rev. Festo Kalungi – Omusumba w’e Kira mu Bulabirizi bw’e Namirembe
6. Rev. Tebasoboke – Ono nga Ali mu office y’eby’obulamu mu Bulabirizi bw’e Mityana
7. Rev. Matovu Samwiri Mbogo- Headmaster wa Sembabule S.S.
8. Rev. Nuwagaba – Headmaster wa Primary School emu mu Lyantonde.
Akakiiko ka Nominations Committee kagenda kutuula ku Mmande nga 20 January 2025 mu kifo ekitannamanyika okulondako amannya abiri aganaaweerezebwa eri Olukiiko lw’Abalabirizi (House of Bishops) olunatuula nga 20 -23 February 2025 olwo bbo balondeko erinnya limu. Era Omulabirzi wa West Buganda ow’omusanvu asuubirwa okutuuzibwa nga 3/3/2025 e Kako.
Ven. Can. Gaster Nsereko, y’omu ku bakrisitayo gwe basimbyeeko olunnwe nga omuntu omutuufu okkuddira omulabirizi Katumba Tamale mu bigere
Okuva mu nsonda ez’esigika omusasi waffe zeyayogeddeko nazo , agamu ku mannya g’abaawule abaasunsuddwamu galiko ebirumira omuli obw’enzi, obukumpanya mu by’ensimbi, ebitabo obutawera wamu n’abalala okuba ng’emyaka tebannaweza kkumi (10) mu buweereza egiragirwa mu Ssemateeka w’ekkanisa ya Uganda.
Kigambibwa nti Rev. Can. Herbert Matovu ebitabo tebyawera bulungi naye bagamba nti Omulabirizi Katumba y’omu ku bantu ababiri b’atembeeta baasobole okumuddira mu bigere. Era Ensonda enneekusifu zigamba nti Matovu nga tannafuuka mwawule yali akola nga Sub county Senior Accounts Assistant, naye mbu yabulankanya ensimbi za NAADS mu Masaka District era n’agobebwa era nassibwako okubuulirizibwa.
Kigambibwa nti bweyali akyanoonyerezebwako, awo weyeesoggera ettendekero ly’abaawule e Namugongo.
Ye Rev. Nuwagaba kigambibwa nti tannaweza myaka 10 mu buweereza ate nga Ssemateeka w’ekkanisa ya Uganda akirambika bulungi nti Omuntu okulondebwa okuba Omulabirizi, ateekeddwa okuba nga amaze mu buweereza emyaka egitakka wansi wa kkumi (10).
Rev. Can. Moses Kayimba ono nga y’omu kabantu ababiri Omulabirizi baateembeeta okumuddira mu bigere, agambibwa okuba nga obuweereza bwe bulimu enziro nnyingi naddala obunafu eri abakyala. Ensonda zaategezezza nti yakwanako mukomusajja nga akyali mu Bulabirizi bw’e Namirembe era amaka negadobonkana. Era agambibwa okuba nga yafunyisa olubuto omukozi we ow’awaka (housegirl) era olubuto nebaluggyamu. Era mbu waliwo n’omuwala munnamawulire gweyali apepeya naye nga naye yamufunyisa olubuto. Era ensonda ayatuwadde eggulire lino yatutegeezezza nti ne kaakano tannaba kussa mukono akyagenda mu maaso n’okukwana bakabasajja.
Rev. Can. Moses Kayimba  Ensonda zaategezezza nti yakwanako mukomusajja nga akyali mu Bulabirizi bw’e Namirembe era amaka negadobonkana.
Era ensonda zategezezza nti Canon Matovu, Canon Kayimba ne Bishop Katumba beemulugunyizibwako abaawule mu West Buganda olw’emivuyo enkumu mu by’ensimbi. Bagamba nti bakola accountability ez’ebiccupuli ate nga buli mwaka tebalaga nnyingiza na nsasaanya ey’emyezi ebiri egisemba mu mwaka (Novemba ne Desemba).
Obulabirizi bwa West Buganda bwakutulwa ku Bulabirizi bwa Uganda mu 1960 
Bano be Balabirizi abaweerezza mu Bulabirizi buno.
1. Bishop Festo Lutaaya 1960 – 1971
2. Bishop Stephen Tomusange 1972 – 1973
3. Bishop Dr. Christopher Disan Ssenyonjo 1974 – 1997
4. Bishop Dr. Samuel Kamya Ssemakula 1999 – 2011
5. Bishop Gofrey Makumbi 2011 – 2015
6. Bishop Henry Tamale Katumba 2016  – 2025 March
Ku luno abakristaayo ba West Buganda baagala Omulabirizi abeere nga nzaalwa ya West Buganda. Era ensonda ezesigika zitegeeza nti bo basibidde ku Canon Simbwa ne Canon Gaster Nsereko nga bano bombi baaliko ba Ssaabadiikoni b’e Masaka e Kijjabwemi ate nga Nsereko abadde Provost wa Lutikko e Kako okumala ebbanga.

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews (Uganda
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country

Advertising Toyota Vigo
Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!