Ekizibu Ekireteddwa Olwa Ham Kiggundu Okuzimba Ku Mwaala Ggwe Nakivubo Mu Kampala
Amataba mu Owino: Laba Akatambi Kano
Uganda Leero: Ekizibu Ekireteddwa Olwa Ham Kiggundu Okuzimba Ku Mwaala Ggwe Nakivubo Mu Kampala
Newankubadde nga mu Sabbiti eno gyetukuba amabega, KCCA yayimiriza Naggagga womu Kampala Ham Kiggundu okuzimba ekizimbe ku Mwaala gwe Nakivubo, nga agamba nti ettka lino lirye, naye byabadde yakakolako biranze akabenje akabadde kolekdde ebitundu ebiriraanye omwala guno nga muno mwotwaalidde akatale ka Owino ne Klezia ya St. Balikuddembe awali ebisigalira by’omujulizi St Baliddembe.
Enkuba eyattonye olwa jjo nga 16/11/2024, olwokuba omwaala guno gwabaadde guzibikiddwa amazzi gayanjaalidde mu Katale ka ka Owino (St. Balikuddembe nga bwolaba mu Katambi Kano negonoona ebintu bya bukadde.
Amataba Gagoyezza aboomu Owino
Omuggagga Ham Kiggundu ayogerwako nga omuntu alina amuli emebaga okukola byakola mu Kampala, yeddiza kisaawe kye Nakivuvo, edda ekyaali kimanyiddwa ennyo nga Nakivubo war memorium stadium, era nga kino yakimaliriza ne kitongozebwa Pulezidenti Museveni jjuuzi.
Ham Kiggundu yazaalibwa mu gwokubiri 10 1984 e Kalungu-Masaka, Kitaawe ye Haruna Ssegawa ne Nyina ye Nakayiza Jalia. Kiggundu ye Ssenkulu wa Ham Enterprises Uganda Limited. Kiggundu agamba nti ensimbi zeyakozesa okukola eby’obusuuzi bye ebyasooka yazewola mu Banka.
Eby’obusubuuzi bya Ham Kiggundu
Ekisaawe kye Nakivubo ekyaggulwaawo jjuuzi Pulezidenti, kibalirirwaamu obukadde US$ 49 eza Amerika.
Mugw’okusatu 2021 ekitongole kya Forbes Magazine kyamulaga nga omu ku banna Uganda abasiinga obuggagga nga abalirwaamu obukadde bwa America US$ 870 mu bintu ebikalu nga muza Uganda zenkanankana 3,139,908,200,000.
Ham ono nga tannaba kuyimirizibwa ba Kitongole kya KCCA, abadde ali kumbiranye n’aba Eklezia ya St Balikuddebe babadde azimbyeeko Bbugwe nga tebakyasobola kugenda ku Eklezia yaabwe.